Isaiah 45

1 a“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
emiryango eminene gireme kuggalwawo.
2 bNdikukulembera
ne ntereeza ebifo ebigulumivu.
Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo
ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
3 cEra ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
4 dKu lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
wadde nga tonzisaako mwoyo.
5 eNze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 fbalyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
tewali mulala.
7 gNze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.

8 h“Mmwe eggulu eriri waggulu,
mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
Nze Mukama nze nagitonda.

9 i“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
10Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
‘Kiki ky’ozadde?’

11 j“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
oba ebikwata ku baana bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 kNze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 lNdiyimusa Kuulo mu butuukirivu
era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 mBw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

15 nDdala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 oBonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 pNaye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.

18 qKubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 rSoogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.

20 s“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 tMukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.

22 u“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 vNeerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 wBalinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 xNaye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Copyright information for LugEEEE